Zabbuli 47
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. 
 1 Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; 
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu; 
 2  Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. 
Ye Kabaka afuga ensi yonna. 
 3 Yatujeemululira abantu, 
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga. 
 4 Yatulondera omugabo gwaffe, 
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza. 
 5 Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi. 
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira. 
 6 Mutendereze Katonda, mumutendereze. 
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.* Okutenderezebwa kwakolebwanga ne Siyofa, ejjembe eryafuuyibwanga okulangirira Omwaka Omuggya 
 7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna, 
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo. 
 8 Katonda afuga amawanga gonna; 
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu. 
 9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye 
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu; 
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi. 
Katonda agulumizibwenga nnyo. 
*Zabbuli 47:6 Okutenderezebwa kwakolebwanga ne Siyofa, ejjembe eryafuuyibwanga okulangirira Omwaka Omuggya