Zabbuli 23
Zabbuli ya Dawudi. 
 1  Mukama ye Musumba wange, seetaagenga. 
 2 Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto. 
Antwala awali amazzi amateefu. 
 3 Akomyawo emmeeme yange. 
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu 
olw’erinnya lye. 
 4 Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; 
kubanga ggwe oli nange. 
Oluga lwo n’omuggo gwo 
bye binsanyusa. 
 5 Onsosootolera emmere 
abalabe bange nga balaba; 
onsiize amafuta ku mutwe,* Okusiiga omuntu amafuta ku mutwe, kaali kabonero akalaga nti omugenyi ayanirizibbwa ku mukolo. 
ekikompe kyange kiyiwa. 
 6 Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange 
ennaku zonna ez’obulamu bwange; 
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, 
ennaku zonna. 
*Zabbuli 23:5 Okusiiga omuntu amafuta ku mutwe, kaali kabonero akalaga nti omugenyi ayanirizibbwa ku mukolo.