Zabbuli 16
Ya Dawudi. 
 1 Onkuume, Ayi Katonda, 
kubanga ggwe buddukiro bwange. 
 2 Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange, 
ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.” 
 3 Abatukuvu abali mu nsi be njagala 
era mu bo mwe nsanyukira. 
 4 Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala 
yeeyongera. 
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,* Ssaddaaka ez’omusaayi zaaweebwangayo mu kusinza balubaale, era yali mpisa y’abo abaasinzanga balubaale. Empisa eyo, omuwandiisi wa Zabbuli gyavumirira 
wadde okusinza bakatonda baabwe. 
 5  Mukama, ggwe mugabo gwange, 
era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange. 
 6 Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa, 
ddala ddala omugabo omulungi. 
 7 Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya 
ne mu kiro ayigiriza omutima gwange. 
 8 Nkulembeza Mukama buli kiseera, 
era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, 
siinyeenyezebwenga. 
 9 Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza; 
era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe. 
 10 Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, 
wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda. 
 11 Olindaga ekkubo ery’obulamu; 
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu, 
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna. 
*Zabbuli 16:4 Ssaddaaka ez’omusaayi zaaweebwangayo mu kusinza balubaale, era yali mpisa y’abo abaasinzanga balubaale. Empisa eyo, omuwandiisi wa Zabbuli gyavumirira