Zabbuli 142
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku. 
 1 Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka; 
neegayirira Mukama ansaasire. 
 2 Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa, 
ne mmwanjulira ebinteganya byonna. 
 3 Omwoyo gwange bwe gunnennyika, 
gw’omanyi eky’okunkolera. 
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita. 
 4 Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera; 
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako. 
 5 Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama, 
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange, 
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.” 
 6 Owulire okukaaba kwange, 
kubanga njeezebwa nnyo! 
Mponya abanjigganya, 
kubanga bansinza nnyo amaanyi. 
 7 Nziggya mu kkomera, 
ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo. 
Abatuukirivu balinneetooloola, 
ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.