Zabbuli 112
Alina omukisa omuntu atya Katonda, 
era asanyukira ennyo mu mateeka ge. 
 2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi; 
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa. 
 3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi; 
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna. 
 4 Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu, 
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu. 
 5 Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba, 
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi. 
 6 Omutuukirivu talinyeenyezebwa, 
era anajjukirwanga ennaku zonna. 
 7 Amawulire amabi tegaamutiisenga, 
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama. 
 8 Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga, 
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi. 
 9 Agabidde abaavu bye beetaaga; 
mutuukirivu ebbanga lyonna; 
era bonna banaamussangamu ekitiibwa. 
 10 Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala, 
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola. 
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.