Zabbuli 100
Zabbuli ey’okwebaza. 
 1 Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna. 
 2 Muweereze Mukama n’essanyu; 
mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu. 
 3 Mumanye nga Mukama ye Katonda; 
ye yatutonda, tuli babe, 
tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye. 
 4 Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, 
ne mu mpya ze n’okutendereza; 
mumwebaze mutendereze erinnya lye. 
 5 Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; 
n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.