Zabbuli 93
 1  Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. 
Mukama ayambadde ekitiibwa 
era yeesibye amaanyi. 
Ensi yanywezebwa; 
teyinza kunyeenyezebwa. 
 2 Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda. 
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe. 
 3 Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; 
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, 
n’amazzi g’ennyanja gayira. 
 4  Mukama, Ali Waggulu Ennyo, 
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi; 
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja. 
 5 Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, 
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo, 
ennaku zonna.