Zabbuli 28
Zabbuli ya Dawudi. 
 1 Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange, 
tolema kumpuliriza; 
kubanga bw’onoonsiriikirira 
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya. 
 2 Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange, 
nga mpanise emikono gyange 
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu, 
nga nkukaabirira okunnyamba. 
 3 Tontwalira mu boonoonyi, 
abakola ebibi; 
abanyumya obulungi ne bannaabwe, 
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere. 
 4 Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri, 
n’olw’ebyambyone bye bakoze. 
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza, 
obabonereze nga bwe basaanidde. 
 5 Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama, 
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye, 
alibazikiririza ddala, 
era talibaddiramu. 
 6 Atenderezebwe Mukama, 
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange. 
 7  Mukama ge maanyi gange, 
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. 
Bwe ntyo ne nyambibwa. 
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga. 
 8  Mukama y’awa abantu be amaanyi, 
era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta. 
 9 Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo. 
Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.