Zabbuli 6
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. 
 1 Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; 
so tombonereza mu kiruyi kyo. 
 2 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. 
Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi. 
 3 Emmeeme yange ejjudde ennaku. 
Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe? 
 4 Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; 
omponye okufa olw’okwagala kwo okungi. 
 5 Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. 
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe? 
 6 Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. 
Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange 
n’omutto ne gutoba. 
 7 Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, 
tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange. 
 8 Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; 
kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange. 
 9  Mukama awulidde okwegayirira kwange, 
n’okusaba kwange akukkirizza. 
 10 Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; 
bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.