55
Abalumwa Ennyonta Bayitibwa 
 1 “Kale mujje, 
mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. 
Mujje mmwe abatalina ssente zigula, 
mujje muweebwe bye mwagala, 
envinnyo oba amata ebitali bya kugula 
ebitaliiko miwendo gya kusasula. 
 2 Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya 
muteganira ebyo ebitakkusa? 
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi, 
emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo. 
 3 Mumpulirize mujje gye ndi. 
Muwulirize mubeere balamu; 
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera, 
era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi. 
 4 Laba namufuula omujulirwa eri abantu, 
omukulembeze era omugabe w’abantu. 
 5 Laba oliyita amawanga g’otomanyi, 
era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli. 
Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo 
era Omutukuvu wa Isirayiri 
kubanga akugulumizza.” 
 6 Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika, 
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi. 
 7 Omubi aleke ekkubo lye, 
n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. 
Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe 
kubanga anaamusonyiyira ddala. 
 8 “Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe 
era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,” 
bw’ayogera Mukama. 
 9 “Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi, 
bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe, 
n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe. 
 10 Era ng’enkuba bwetonnya 
n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu 
n’ebitaddayo, 
wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula, 
ne bimerusa ensigo z’omusizi, 
era ne biwa omuli emmere, 
 11 bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; 
tekiriddayo bwereere, 
naye kirikola ekyo kye njagala 
era kirituukiriza ekyo kye nakituma. 
 12 Kubanga mulifuluma n’essanyu 
ne mugenda mirembe, 
ensozi n’obusozi nabyo 
ne bitandika okuyimba nga bibalabye, 
n’emiti gyonna 
ne gitendereza n’essanyu. 
 13 Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya, 
ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi. 
Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe 
era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo 
ak’emirembe n’emirembe.”