35
Essanyu ly’Abanunule 
 1 Eddungu n’ensi enkalu birijaguza; 
Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu. 
Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti  2 birimeruka, 
birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka. 
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, 
ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; 
baliraba ekitiibwa kya Mukama, 
ekitiibwa kya Katonda waffe. 
 3 Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye. 
 4 Mugambe abo abalina omutima omuti nti, 
Mubeere n’amaanyi temutya: 
laba Katonda wammwe alijja; 
alibalwanirira, 
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda, 
era alibalokola. 
 5 Olwo amaaso g’abazibe galiraba, 
era n’amatu ga bakiggala galigguka; 
 6 omulema alibuuka ng’ennangaazi, 
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. 
Amazzi galifubutuka 
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu. 
 7 N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, 
n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi. 
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, 
n’essaalu, n’ebitoogo. 
 8 Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, 
eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. 
Abatali balongoofu tebaliriyitamu, 
liriba ly’abali abalongoofu, 
kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu. 
 9 Teribaayo mpologoma, 
so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; 
tezirirabikayo, 
naye abanunule balitambulira eyo. 
 10 N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, 
n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. 
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, 
okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.