12
Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe 
 1 Ku lunaku olwo oligamba nti, 
“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda; 
newaakubadde nga wansunguwalira, 
obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi. 
 2 Laba Katonda bwe bulokozi bwange; 
nzija kumwesiga era siritya; 
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, 
era afuuse obulokozi bwange.” 
 3 Munaasenanga n’essanyu amazzi 
okuva mu nzizi ez’obulokozi. 
 4 Era ku lunaku olwo mulyogera nti, 
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, 
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, 
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe. 
 5 Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo; 
muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna. 
 6 Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni, 
kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”